Psalms 68:16 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Olusozi Basani lusozi lwa kitiibwa; Olusozi Basani lusozi lwa busozisozi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Lwaki otunuza obuggya ggwe olusozi olw’emitwe emingi? Lwaki okwatirwa obuggya olusozi Katonda lwe yalonda okufugirako? Ddala okwo Mukama kw’anaabeeranga ennaku zonna.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kiki ekibaluziimuuza, mmwe ensozi empanvu, Olusozi Katonda lwe yayagala okutuulako? Weewaawo, Mukama anaalutuulangako emirembe gyonna.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ggwe olusozi olw'emitwe emigulumivu, lwaki oziimuula olusozi Katonda lwe yayagala okubeerako? Ddala alirubeerako ennaku zonna.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kiki ekibaluziimuuza, mmwe ensozi empanvu, Olusozi Katonda lwe yayagala okulutuulako? Weewaawo, Mukama anaalutuulangako emirembe gyonna.