Psalms 68:17 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ayi olusozi olw'obusozisozi, lwaki otunuulira n'obuggya olusozi Katonda kwe yalonda okusula, Omukama w'anaabeera emirembe gyonna?
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mukama ava ku lusozi Sinaayi nga yeetooloddwa amagaali enkumi n’enkumi n’ajja mu kifo kye ekitukuvu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Amagaali ga Mukama gy'emitwalo ebiri (20,000), ze nkumi n'enkumi; Mukama ali mu ago, nga ku Sinaayi, mu watukuvu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama ava ku Sinaayi n'amagaali ge obukumi n'obukumi, n'ayingira mu kifo ekitukuvu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Amagaali ga Mukama bwe bukumi obubiri, ze nkumi n’enkumi: Mukama ali mu ago, nga ku Sinaayi, mu watukuvu.