Psalms 68:18 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ebigaali bya Katonda mitwalo na mitwalo, nkumi na nkumi; Omukama yava ku Sinayi n'ajja mu kifo kye ekitukuvu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bwe walinnyalinnya olusozi, ng’abanyage bakugoberera; abantu ne bakuwa ebirabo nga ne bakyewaggula mwebali; bw’atyo Mukama Katonda n’abeeranga wamu nabo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Olinnye waggulu, n'otwala abasibe bangi; Oweereddwa ebirabo mu bantu, Era ne mu bajeemu, Mukama Katonda alyoke atuulenga wamu nabo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Alinnya ku lusozi oluwanvu ng'atwala abasibe bangi. Afunye ebirabo bingi mu bantu, ne mu abo abajeemu. Mukama anaabeeranga eyo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Olinnye waggulu, osibye obusibe bwo; Oweereddwa ebirabo mu bantu, Era ne mu bajeemu, Mukama Katonda alyoke atuulenga wamu nabo.