Psalms 68:19 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bwe wayambuka waggulu, wagenda n'abasibe, wafuna ebirabo okuva mu bantu, newandibadde okuva mu bajeemu, bw'otyo, ayi Mukama Katonda, osobole okusula eyo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Atenderezebwe Mukama, Katonda omulokozi waffe, eyeetikka emigugu gyaffe egya buli lunaku.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mukama atenderezebwenga atusitulira omugugu gwaffe buli lunaku, Ye Katonda, bwe bulokozi bwaffe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama atuwanirira buli lunaku, atenderezebwe. Ye Katonda atulokola.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mukama atenderezebwenga atusitulira omugugu gwaffe buli lunaku, Ye Katonda, bwe bulokozi bwaffe. (Seera)