Psalms 68:2 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Katonda asituke, abalabe be babunyisibwe emiwabo, abamukyawa bamwetegule.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ng’empewo bw’efuumuula omukka, naawe bafuumuule bw’otyo; envumbo nga bw’esaanuuka mu muliro, n’abakola ebibi bazikirire bwe batyo mu maaso ga Katonda!
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ng'omukka bwe gugobebwa, obagobe bw'otyo; Ng'envumbo bw'esaanuuka awali omuliro, N'ababi bazikirire bwe batyo awali Katonda!
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abafuumuule ng'omukka bwe gufuumuuka. Ng'envumbo bw'esaanuuka awali omuliro, n'ababi bwe baba bazikirira awali Katonda.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ng'omukka bwe gugobebwa, obagobe bw'otyo: Ng'envumbo bw'esaanuuka ku muliro, Ababi bazikirire bwe batyo awali Katonda.