Psalms 68:24 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
mulyoke munnyike ebigere byammwe mu musaayi gw'abalabe, n'ennimi z'embwa zammwe zeefunire omugabo gwabwe.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ekibiina kyo ky’okulembedde bakirabye, Ayi Katonda, balabye abali ne Katonda wange, era Kabaka wange, ng’otambula okugenda mu watukuvu;
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Balabye bw'otambula, Ayi Katonda, Ggwe Katonda wange, Kabaka wange, bw'otambula ng'oyingira mu watukuvu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ayi Katonda, bonna balabye bw'otambula, bw'otambula ggwe Katonda wange, Kabaka wange, ng'oyingira mu kifo kyo ekitukuvu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Balabye bw'otambula, ai Katonda, Ggwe Katonda wange, Kabaka wange, bw'otambula ng'oyingira mu watukuvu.