Psalms 68:27 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mutendereze Katonda mu lukuŋŋaana olukulu; mutendereze Omukama mu zzadde lya Yisirayeli.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Waliwo ekika kya Benyamini asinga obuto kye kikulembedde, ne kuddako ekibinja ekinene eky’abalangira ba Yuda, n’abalangira ba Zebbulooni n’abalangira ba Nafutaali.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Waliwo Benyamini omuto abafuga, kuddeko abalangira ba Yuda ne be baateesa nabo, bagobererwe abalangira ba Zebbulooni, n'abalangira ba Nafutaali.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Benyamiini asembayo obuto abakulembere, kuddeko abalangira ba Yuda. Bagobererwe abakungu ba Zebbulooni n'aba Nafutaali.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Waliwo Benyamini omuto abafuga, Waliwo abalangira ba Yuda n'abateesa nabo, Waliwo abalangira ba Zebbulooni, abalangira ba Nafutaali.