Psalms 68:28 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Benyamiini wuuyo, omuto abakulembeddemu; kiikyo ekibinja ky'abakungu ba Yuda, era baabo abalangira ba Zebuluni ne Nafutali.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Laga obuyinza bwo, Ayi Katonda, otulage amaanyi go, Ayi Katonda onyweze ebyo by’otukoledde.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Katonda wo alazze amaanyi ge; Onywezenga, Ayi Katonda, kye watukolera.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Laga obuyinza bwo, ayi Katonda, n'amaanyi ge wakozesa okugasa ffe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Katonda wo alagidde amaanyi go: Onywezenga, ai Katonda, kye watukolera.