Psalms 68:30 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Olw'okubeera Ekiggwa kyo ekiri mu Yeruzaalemu, bakabaka balireeta ebirabo gy'oli.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Nenya ensolo enkambwe ey’omu bisaalu, eggana lya ziseddume eriri mu nnyana z’amawanga. Gikkakkanye ereete omusolo ogwa ffeeza. Osaasaanye amawanga agasanyukira entalo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Boggolera ensolo ezo ez'omu bitoogo, Ente ennyingi eza sseddume, n'ennyana ez'amawanga, Linyirira wansi w'ebigere byo abo abayayanira ebirabo; saasaanya abantu bonna abasanyukira entalo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Boggolera ensolo ezo ez'omu kisaalu, boggolera amawanga, ente ezo ennume, n'ennyana zaakwo, okutuusa zonna lwe zirivuunama ne zikutonera ffeeza. Saasaanya abantu abaagala entalo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Onenye ensolo ey'omu bitoogo, Ente ennyingi eza seddume, n'ennyana ez'amawanga, Ng'olinnyirira ebitundu eby'effeeza n'ebigere byo; Asaasaanyizza amawanga agasanyukira entalo.