Psalms 68:33 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Obwakabaka bw'ensi, muyimbire Katonda, Muyimbire Omukama ettendo,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Oyo eyeebagala eggulu erya waggulu ery’edda, eddoboozi lye ery’amaanyi liwuluguma okuva mu ggulu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Oyo eyeebagala ku ggulu eriri waggulu w'eggulu, eryabaawo edda n'edda lyonna; Laba, ayogera n'eddoboozi lye, lye ddoboozi ery'amaanyi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Muyimbire eyeebagala ku ggulu eryabaawo edda n'edda lyonna. Muwulire bw'ayogera n'eddoboozi lye ery'amaanyi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Oyo eyeebagala ku ggulu eriri waggulu w'eggulu, eryabaawo edda n'edda lyonna; Laba, ayogera n'eddoboozi lye, lye ddoboozi ery'amaanyi.