Psalms 68:35 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mwatule obuyinza bwa Katonda, ekitiibwa kye ekiri ku Yisirayeli, amaanyi ge agali mu bire.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Oli wa ntiisa, Ayi Katonda, mu kifo kyo ekitukuvu. Katonda wa Isirayiri, yawa abantu obuyinza n’amaanyi. Katonda atenderezebwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ayi Katonda, oli wa ntiisa ng'oyima mu bifo byo ebitukuvu, Katonda wa Isiraeri yawa amaanyi n'obuyinza abantu be. Katonda yeebazibwe!
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Katonda nga wa ntiisa mu kifo kye ekitukuvu, Katonda oyo owa Yisirayeli! Awa abantu be obuyinza n'amaanyi. Katonda atenderezebwe
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ai Katonda, oli wa ntiisa ng'oyima mu bifo byo ebitukuvu: Katonda wa Isiraeri yawa amaanyi n'obuyinza abantu be. Katonda yeebazibwe.