Psalms 68:5 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Muyimbire Katonda, mutendereze erinnya lye; mumukolere ekkubo oyo atambulira ku bire; erinnya lye ye Mukama, mujaganyize mu maaso ge.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ye Kitaawe w’abataliiko bakitaabwe, ye mukuumi wa bannamwandu; ye Katonda abeera mu kifo kye ekitukuvu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kitaabwe w'abo abatalina bakitaabwe, era omukuumi wa bannamwandu, Oyo ye Katonda mu kifo kye ekitukuvu ky'atuulamu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Katonda abeera mu kifo kye ekitukuvu, ye alabirira abatalina kitaabwe, era ye akuuma bannamwandu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kitaabwe w'abo abatalina bakitaabwe, era asalira bannamwandu omusango, Katonda mu kifo kye ekitukuvu ky'atuulamu.