Psalms 68:8 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ayi Katonda, wavaayo ng'okulembedde abantu bo; bwe weekaaliisa mu ddungu,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
ensi yakankana, eggulu ne lifukumula enkuba mu maaso ga Katonda; n’olusozi Sinaayi ne lukankana awali Katonda, Katonda wa Isirayiri!
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ensi n'ekankana, Enkuba nefukumuka okuva mu ggulu mu maaso ga Katonda: Olusozi luli Sinaayi ne lukankanira mu maaso ga Katonda, Katonda wa Isiraeri.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
ensi yakankana, enkuba yafukumuka, Olusozi Sinaayi lwakankana olw'okujja kwa Katonda wa Yisirayeli.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ensi n'ekankana, Eggulu ne ligwa mu maaso ga Katonda: Olusozi luli Sinaayi ne lukankanira mu maaso ga Katonda, Katonda wa Isiraeri.