Psalms 69:13 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abatuula ku mulyango banjerega; nfuuse lujeejeemo lw'abanywi b'omwenge.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye nze, Ayi Mukama, nsaba ggwe, mu kiseera eky’ekisa kyo. Olw’okwagala kwo okungi, onnyanukule, Ayi Katonda, ondokole nga bwe wasuubiza.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye nze, okusaba kwange kuli eri ggwe, Ayi Mukama, mu kiseera eky'okukkirizibwamu; Ayi Katonda, mu kusaasira kwo okungi, Onziremu mu mazima ag'obulokozi bwo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye nze neegayirira ggwe, ayi Mukama, onziremu mu kiseera ky'osiima, ayi Katonda. Onziremu kubanga olina ekisa kingi, era oli mwesigwa mu kuyamba.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye nze, okusaba kwange kuli eri ggwe, ai Mukama, mn kiseera eky'okukkiririzaamu: Ai Katonda, mu kusaasira kwo okungi, Onziremu mu mazima ag'obulokozi bwo.