Psalms 69:15 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nsikaayo mu kateebe, tondeka kubbira; mponya abankyawa; mponya amazzi g'omu ddubi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
amataba galeme okumbuutikira n’obuziba okunsanyaawo, n’ennyanja ereme okummira.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Amazzi amangi galeme okunsaanyaawo, Newakubadde obunnya buleme okummira, oba obunnya okunzigalira mu kamwa k'abwo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Toleka mayengo kunsaanyaawo, ne nzikirira ebuziba, wadde okumiribwa obunnya.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Amazzi amangi galeme okumpangula, Newakubadde obuziba buleme okummira; Newakubadde obunnya buleme okunzibira akamwa kaabwo.