Psalms 69:16 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Toleka mujjuzo kunsaanyaawo, n'eddubi lireme kummira, n'obunnya buleme kunsaanikirira muli.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Onnyanukule, Ayi Mukama olw’obulungi bw’okwagala kwo; onkyukire olw’okusaasira kwo okungi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Onziremu, Ayi Mukama; kubanga ekisa kyo kirungi; Ng'okusaasira kwo bwe kuli okungi, onkyukire.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Nziraamu ayi Mukama ow'ekisa, omulungi! Ggwe ajjudde okusaasira, kyuka otunuleko gye ndi!
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Onziremu, ai Mukama; kubanga ekisa kyo kirungi: Ng'okusaasira kwo bwe kuli okungi, onkyukire.