Psalms 69:17 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nziraamu, ayi Mukama, olw'obulungi bw'okwagala kwo; nkyukiza amaaso go olw'obungi bw'ekisa kyo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Tokisa muddu wo maaso go; yanguwa okunziramu, kubanga ndi mu kabi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
So tokisa amaaso go omuddu wo; Kubanga ndi mu nnaku; oyanguwe okunziramu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Tonneekweka nze omuddu wo. Ndi mu buyinike, yanguwa okunziramu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
So tokisa amaaso go omuddu wo; Kubanga ndi mu nnaku; oyanguwe okunziramu.