Psalms 69:20 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omanyi nga bwe nvumibwa, bwe nswadde, ne bwe nnyoomeddwa; bonna abambonyaabonya bali mu maaso go.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Okusekererwa kunkutudde omutima era kummazeemu amaanyi. Nanoonya okusaasirwa ne kumbula, n’ow’okumpooyawooya naye nga simulaba.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Okuvumibwa kumenye omutima gwange; era njijudde ennaku. Nnoonyezza anansaasira, naye tewabadde n'omu. Era abanaansanyusa, naye ne siraba.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Okuvumibwa kummenye omutima, era kunterebudde. Nnoonyezza anansaasira n'ambula, era siraba banansanyusa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Okuvumibwa kumenye omutima gwange; era njijudde ennaku: Nnoonyezza anansaasira, naye tewabadde n'omu: Era abanansanyusa, naye ne siraba.