Psalms 69:21 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Okuvumibwa kwammenya omutima, ne nzigwamu; nalinda okusaasirwa, ne wabula n'okumu, anankubagiza, ne sisanga n'omu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mu kifo ky’emmere bampa mususa, era bwe nalumwa ennyonta bampa nkaatu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era bampa omususa okuba emmere yange; Era bwe nnalumibwa ennyonta ne bannywesa omwenge omukaatuufu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mu kifo ky'emmere bampa mususa. Ennyonta bwe yannuma bannywesa nkaatu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era bampa omususa okuba emmere yange; Era bwe nnalumibwa ennyonta ne bannywesa omwenge omukaatuufu,