Psalms 69:3 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ntubidde mu lutobazzi, mu kateebe awatali we nsimba kigere; amazzi ngatuuse mu ddubi, n'engezi embisse.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ndajanye ne nkoowa, n’emimiro ginkaze. Amaaso ganzizeeko ekifu gakooye olw’okutunula enkaliriza nga nnindirira Katonda wange.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Okukaaba kwange kunkooyesezza; obulago bwange bukaze, Amaaso gange gayimbadde nga, nnindirira Katonda wange.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Okukaaba kunkooyezza, obulago bunkaze. Amaaso gakutte ekifu, nga nnindirira ggwe Katonda wange.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Okukaaba kwange kunkooyesezza; obulago bwange bukaze: Amaaso gange ganzibye nga nnindirira Katonda wange.