Psalms 69:32 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kino kirisanyula Katonda n'okusinga zisseddume, okusinga ente ennume ez'amayembe n'ebinuulo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abaavu banaakirabanga ne basanyuka; mmwe abanoonya Katonda omutima gwammwe ne gubeera omulamu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abo abanyigirizibwa bakirabye ne basanyuka; Mmwe abanoonya Katonda, omutima gwammwe gube omulamu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abanyigirizibwa bwe baliraba kino, balisanyuka. Abasinza Katonda baliddamu amaanyi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Abawombeefu bakirabye ne basanyuka: Mmwe abanoonya Katonda, omutima gwammwe gube omulamu.