Psalms 69:36 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kubanga Katonda alinunula Siyoni, alizimba buto ebibuga bya Yuda. Olwo abantu balisengamu ne babitwala;
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abaana b’abaweereza be balikisikira; n’abo abaagala erinnya lya Mukama omwo mmwe banaabeeranga.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era n'ezzadde ly'abaddu be baligisikira; N'abo abaagala erinnya lye balituula omwo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Eriba ya bazzukulu b'abaweereza be, n'abo abamwagala, be baligibeeramu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era n'ezzadde ly'abaddu be baligisikira; N'abo abaagala erinnya lye balituula omwo.