Psalms 69:4 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nkooye okulaajana, n'emimiro ginkaze. Amaaso gange gayimbadde nga nnindirira Katonda wange.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abo abankyayira obwereere bangi okusinga enviiri ez’oku mutwe gwange; abalabe bange bangi abannoonya okunzita awatali nsonga; ne mpalirizibwa mbaddizeewo ekyo kye sibbanga.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abankyayira obwereere basinga enviiri ez'oku mutwe gwange obungi; Ba maanyi abaagala okunzikiriza, abo abannumba nga bawayiriza. Ebyo bye ssabba kaakano bye nsaana okuzzawo?
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abankyayira obwemage bangi, okusinga enviiri ez'oku mutwe gwange. Abalabe bange bampaayiriza. Ba maanyi, baagala okunzita, bampaliriza nzizeeyo bye sabba.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Abankyayira obwereere basinga enviiri ez'oku mutwe gwange obungi: Abaagala okunzikiriza, kubanga be balabe bange awatali nsonga, ba maanyi: Ne ndyoka nziza kye saabaggyaako.