Psalms 69:6 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ayi Katonda, ggwe omanyi obusiru bwange; emisango gyange tegikukwekeddwa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Sisaana kuswaza abo abakwesiga, Ayi Mukama, Mukama ow’Eggye. Abo abakunoonya baleme kuswazibwa ku lwange, Ayi Katonda wa Isirayiri.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abakulindirira ggwe balemenga okukwatibwa ensonyi ku lwange, Ayi Mukama Katonda ow'eggye; Abakunoonya ggwe balemenga okuswazibwa ku lwange, Ayi Katonda wa Isiraeri.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abakwesiga tobaleka kuswala ku lwange, ayi Mukama Katonda Nnannyinimagye! Abakunoonya tondeka kubaswaza, ayi Katonda wa Yisirayeli!
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Abakulindirira ggwe balemenga okukwatibwa ensonyi ku lwange, ai Mukama Katonda ow'eggye: Abakunoonya ggwe balemenga okuswazibwa ku lwange, ai Katonda wa Isiraeri.