Psalms 69:7 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abasuubira mu ggwe baleme kuswala olw'okubeera nze, ayi Mukama, Katonda w'Amagye; abakunoonya baleme kuswala olw'okubeera nze, ayi Katonda wa Yisirayeli.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ngumiikirizza okuvumwa ku lulwo, n’amaaso gange ne gajjula ensonyi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga banvuma okunnanga ggwe; Ensonyi zibisse amaaso gange.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Banvuma lwa kubeera ggwe, ne nswala.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga banvuma okunnanga ggwe; Ensonyi zibisse amaaso gange.