Psalms 7:1 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Okukungubaga kwa Dawudi kwe yayimbira Omukama olwa Kuusi Omubenyamiini.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ayi Mukama, Katonda wange, neesiga ggwe: ngobaako bonna abangigganya era omponye,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ayi Mukama, Katonda wange, gwe buddukiro bwange, Ndokola, omponye bonna abanjigganya,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ayi Mukama Katonda wange, nzirukira gy'oli. Ndokola era mponya bonna abanjigganya,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ai Mukama, Katonda wange, neesiga ggwe: Ondokole eri abo bonna abangoba, omponye: