Psalms 7:10 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Komya obwonoonefu bw'ababi; abatuukirivu bawe banywere, ayi Katonda omutuukirivu, ggwe awenja emitima n'emmeeme.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Katonda Ali Waggulu Ennyo ye ngabo yange; alokola abo abalina omutima omulongoofu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Katonda ye ngabo mwe nneewogoma, Alokola abalina omutima ogw'amazima.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Katonda ye ngabo mwe nneewogoma, alokola ab'omutima omulongoofu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Engabo yange eri ne Katonda, Alokola abalina omutima ogw'amazima.