Psalms 7:9 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukama alamula amawanga; nnamula, ayi Mukama, ng'osinziira ku butuukirivu bwange, ng'osinziira ku bulungi bwange, ayi Ali Waggulu Ddala.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ayi Katonda omutukuvu, akebera emitima n’emmeeme; okomye ebikolwa by’abakola ebibi: era onyweze abatuukirivu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Gwe Katonda omutuukirivu akebera emitima n'ebirowoozo, komya okwonoona kw'ababi, Onyweze abatuukirivu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ggwe Katonda omutuukirivu akebera emitima n'ebirowoozo, malawo ettima ly'ababi, onyweze abatuukirivu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Singa obubi obw'ababi buweddewo, naye abatuukirivu ggwe obanyweze: Kubanga Katonda ow'obutuukirivu ageza emitima n'emmeeme.