Psalms 70:1 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Eri omuyimbisa. Lwa Dawudi. Olw'okujjukiza.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ayi Katonda oyanguwa okundokole. Ayi Mukama oyanguwe okumbeera.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Oyanguwe, Ayi Katonda, okundokola! Oyanguwe okunnyamba, Ayi Mukama!
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ayi Katonda, kkiriza okumponya, ayi Mukama, yanguwa okunnyamba.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Oyanguwe, ai Katonda, okundokola; Oyanguwe okunnyamba, ai Mukama.