Psalms 70:2 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ayi Mukama, jjangu onjune; ayi Mukama, yanguwa okunnyamba.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abo abannoonya okunzita batabulwetabulwe; abo abannoonya okunzikiriza, bagobebwe nga baswadde.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bakwatibwe ensonyi baswale Abanoonya emmeeme yange! Bazzibwe ennyuma bajeezebwe Abasanyukira okufiirwa kwange!
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abaagala okunzita bakwatibwe ensonyi baswale. Abasanyukira ennaku yange, bazzibwe emabega nga baswadde.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bakwatibwe ensonyi baswale Abanoonya emmeeme yange: Bazzibwe ennyuma bajeezebwe Abasanyukira okufiirwa kwange.