Psalms 70:3 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Baswale, ensonyi zibakwate, abo abanoonya obulamu bwange; bazzibweyo ennyuma nga baswavu, bonna abeegomba okuzikirira kwange.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abagamba nti, “Kasonso,” badduke nga bajjudde ensonyi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bazzibwe ennyuma olw'ensonyi zaabwe Aboogera nti Nyenya! nyenya!
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abansekerera, batye era baswale.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bazzibwe ennyuma olw'ensonyi zaabwe Aboogera nti Nyenya, nyenya.