Psalms 70:4 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Baddeyo ennyuma olw'okuswaluka, abo abagamba nti: “K'olabe, k'olabe!”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye bonna abakunoonya basanyukenga bajagulizenga mu ggwe. Abo abaagala obulokozi bwo boogerenga bulijjo nti, “Katonda agulumizibwenga!”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bonna abakunoonya bakusanyukirenga bajaguzenga; N'abo abaagala obulokozi bwo boogerenga bulijjo nti, “Katonda agulumizibwenga.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bonna abeeyuna gy'oli, basanyuke bajaguze. Abakwebaza olw'okubalokola bagambenga bulijjo nti: “Katonda agulumizibwe”.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bonna abakunoonya bakusanyukirenga bajaguzenga; N'abo abaagala obulokozi bwo boogerenga bulijjo nti Katonda agulumizibwenga.