Psalms 70:5 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye bajaguze, bakusanyukiremu abo bonna abakunoonya; bagambe bulijjo nti: “Katonda agulumizibwe,” bonna abo abeegomba obulokofu bwo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye nze ndi mwavu era ndi mu kwetaaga; oyanguwe okujja gye ndi, Ayi Katonda. Ggwe onnyamba era ggwe ondokola, Ayi Mukama, tolwa!
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye nze ndi mwavu, sirina kintu! Oyanguwe okujja gye ndi, Ayi Katonda! Ggwe oli mubeezi wange era omulokozi wange; Ayi Mukama, tolwawo!
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Nze ndi mwavu, ndi mu bwetaavu, yanguwa okujja gye ndi, ayi Katonda. Ggwe onnyamba era ggwe omponya, ayi Mukama, tolwa!
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye nze ndi mwavu, sirina kintu; Oyanguwe okujja gye ndi, ai Katonda: Ggwe oli mubeezi wange era omulokozi wange; Ai Mukama, tolwawo.