Psalms 71:1 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ayi Mukama, nzirukidde gy'oli; tondekanga kuswala mirembe gyonna;
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mu ggwe, Ayi Mukama, mwe neekweka, tondeka kuswazibwa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Eri ggwe, Ayi Mukama, gye nzirukira; Nnemenga okukwatibwa ensonyi ennaku zonna!
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ayi Mukama, nzirukira gy'oli, tondeka kuswala.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ggwe, ai Mukama, ggwe nneesiga: Nnemenga okukwatibwa ensonyi ennaku zonna.