Psalms 71:15 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Akamwa kange kalirangirira obutuukirivu bwo, olunaku lwonna obulokozi bwo, anti n'okumanya simanyi we bwenkana.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Akamwa kange kanaayogeranga ku bikolwa byo eby’obutuukirivu obudde okuziba; nnaayogeranga ku bulokozi bwo, wadde siyinza kubupima.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Akamwa kange kanaatendanga obutuukirivu bwo, N'obulokozi bwo okuzibya obudde; Kubanga omuwendo gwabyo sisobola kugutegeera.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Nnaatendanga ebirungi by'okola, olunaku lwonna nnaayogeranga ku by'okola okulokola, newaakubadde nga sisobola kubitegeera.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Akamwa kange kanaatenderanga obutuukirivu bwo, N'obulokozi bwo okuzibya obudde; Kubanga omuwendo gwabyo sigumanyi.