Psalms 71:17 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ayi Katonda, wanjigiriza okuva mu buvubuka bwange, n'okutuusa kati ndojja ebyewuunyisa byo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ayi Katonda, ggwe wanjigiriza okuva mu buvubuka bwange; n’okutuusa leero nkyatenda ebikolwa byo eby’ekitalo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ayi Katonda, ggwe wanjigirizanga okuva mu buto bwange; Era okutuusa leero nnaabuuliranga ebikolwa byo eby'ekitalo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ayi Katonda, wanjigiriza okuva mu buto bwange era ne kati nkyayogera ku bikolwa byo ebyewuunyisa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ai Katonda, ggwe wanjigirizanga okuva mu buto bwange; Era okutuusa leero naabuuliranga ebikolwa byo eby'ekitalo.