Psalms 71:18 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Na kati mu bukadde, nga mbunye envi, ayi Katonda, tonjabuliranga, ngira ntendera ezzadde lino ebikuuno byo, n'abalijja bonna, obuyinza bwo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne bwe ndiba nga nkaddiye nga mmeze n’envi, tonjabuliranga, Ayi Katonda, okutuusiza ddala nga mmaze okutendera abo abaliddawo amaanyi go amangi, n’okumanyisa emirembe egigenda okujja obuyinza bwo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Weewaawo, bwe ndiba nkaddiye era nga mmeze envi, Ayi Katonda, tondekanga; Okutuusa lwe ndibuulira amaanyi go emirembe egijja okubaawo, N'obuyinza bwo buli muntu agenda okujja.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kaakati nga nkaddiye, nga mmeze n'envi, tonjabulira, ayi Katonda. Beera nange, mmanyisenga amaanyi go, n'obuyinza bwo emirembe egijja.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Weewaawo, bwe ndiba nkaddiye era nga mmeze envi, ai Katonda, tondekanga; Okutuusa lwe ndibuulira amaanyi go emirembe egijja okubaawo, N'obuyinza bwo buli muntu agenda okujja.