Psalms 71:20 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Newandibadde ng'ondabizza ennaku, ennyingi ate enkakali, kyokka oluvannyuma olimpa obulamu nate, nate olinzigyayo eyo ekkuzimu mu ttaka.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Newaakubadde wandeka ne mbonaabona nnyo bwe ntyo, ggw’olinzizaamu obulamu, n’ompa amaanyi amaggya, n’onnyimusa okuva mu kinnya ekiwanvu ennyo wansi w’ensi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ggwe eyandaga ebibonoobono ebingi ebizibu, Olinzuukiza nate, Era olininnyisa nate okuva mu bya wansi by'ensi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ggwe eyandeka ne mbonaabona nnyo era ggwe olinzizaamu amaanyi, onzigye emagombe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ggwe eyatulaga ebibonoobono ebingi ebizibu, Olituzuukiza nate, Era olitulinnyisa nate okuva mu bya wansi by'ensi.