Psalms 71:24 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Olunaku lwonna olulimi lwange lulimanyisa obutuukirivu bwo; kubanga abanoonya okunzikiriza baswadde, batoowaziddwa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Olulimi lwange nalwo lunaayogeranga ku bikolwa byo eby’obutuukirivu obudde okuziba, kubanga abo ababadde baagala okunkola akabi otabuddetabudde enkwe zaabwe ne baswazibwa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era n'olulimi lwange lunaayogeranga ku butuukirivu bwo okuzibya obudde, Kubanga bakwatiddwa ensonyi, baswazibbwa abaagala okunkola obubi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Olunaku lwonna nnaayogeranga ku bulungi bwo, kubanga abaagala okunkolako akabi bakwatiddwa ensonyi, baswaziddwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era n'olulimi lwange lunaayogeranga ku butuukirivu bwo okuzibya obudde: Kubanga bakwatiddwa ensonyi, baswazibbwa abaagala okunkola obubi.