Psalms 71:6 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Okuva lwe nazaalibwa, nnyweredde ku ggwe; okuva mu nda ya nnyabo, ggwe onkuuma; bulijjo nnaakutenderezanga.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Neesiga ggwe kasookedde nzalibwa; ggwe wanziggya mu lubuto lwa mmange. Nnaakutenderezanga ennaku zonna.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ggwe wampanirira okuva mu lubuto; Ggwe wanzigya mu byenda bya mmange. Ggwe gwe nnaatenderezanga ennaku zonna.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ggwe wampanirira okuviira ddala lwe nazaalibwa, ggwe wanzigya mu nda ya mmange. Nnaakutenderezanga bulijjo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ggwe wampanirira okuva mu lubuto: Ggwe wanziya mu byenda bya mmange: Ggwe gwe nnaatenderezanga ennaku zonna.