Psalms 72:13 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kubanga asaasira omunafu n'awooba, awonya n'obulamu bw'adaagana.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Anaasaasiranga omunafu n’omwavu; n’awonya obulamu bwa kateeyamba.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Anaasaasiranga omwavu n'omunafu, N'emmeeme z'abanafu anaazirokolanga.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Asaasira abaavu n'abanaku, awonya obulamu bw'abateeyamba.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Anaasaasiranga omwavu n'omunafu, N'emmeeme z'abanafu anaazirokolanga.