Psalms 72:15 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awangaale, ne zaabu ow'e Seba amuweebwe; bamusabirenga bulijjo, bamutenderezenga olunaku lwonna.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awangaale! Aleeterwe zaabu okuva e Syeba. Abantu bamwegayiririrenga era bamusabirenga emikisa buli lunaku.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era banaabanga balamu; naye anaaweebwanga ku zaabu ey'e Syeba! Era abantu banaamusabiranga bulijjo; Banaamwebazanga okuzibya obudde!
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awangaale! Aweebwe ku zaabu ow'e Buwarabu. Abantu bamusabirenga bulijjo, basiibenga nga bamusabira omukisa gwa Katonda.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era banaabanga balamu; naye anaaweebwanga ku zaabu ey'e banaamusabiranga Syeba: Era abantu bulijjo; Banaamwebazanga okuzibya obudde.