Psalms 72:16 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Eŋŋano ebeere ya kyengera mu nsi, eyuugira ku ntikko z'ensozi. Ekibala kye kibeere nga Lebanoni; abantu mu kibuga baanye ng'omuddo ku ttaka.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Eŋŋaano ebale nnyingi nnyo mu nsi, ebikke n’entikko z’ensozi. Ebibala byayo byale ng’eby’e Lebanooni; n’abantu baale mu bibuga ng’omuddo ogw’oku ttale.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Wanaabangawo emmere enkalu nnyingi mu nsi ku ntikko y'ensozi; Ebibala byayo binaabaanga bingi ng'eby'omu Lebanooni; Ebibuga bijjule abantu, ng'ettale bwe lijjula omuddo!
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ensi ebeere mu kyengera, obusozi bujjule ebibala, bibeere bingi ng'eby'omu Lebanooni. Ebibuga bijjule abantu, ng'ettale bwe lijjula omuddo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Wanaabangawo emmere enkalu nnyingi mu nsi ku ntikko y'ensozi; Ebibala byayo binaayuuganga nga Lebanooni: N'ab'ekibuga banaameranga ng'omuddo ogw'oku nsi.