Psalms 72:17 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Erinnya lye libeerewo emirembe gyonna; liwangaale ng'enjuba; mu ye amawanga gonna mwe gaba gaweerwa omukisa; gamwesiimisenga.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Erinnya lye libeerengawo ennaku zonna, n’okwatiikirira kwe kube kwa nkalakkalira ng’enjuba. Amawanga gonna ganaaweebwanga omukisa ku lu lw’erinnya lye, era abantu bonna bamuyitenga aweereddwa omukisa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Erinnya lye linaabeereranga emirembe gyonna; Erinnya lye linaalwangawo ng'enjuba! N'abantu banaalabanga omukisa mu ye; Amawanga gonna ganaamuyitanga wa Mukisa!
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Erinnya lye lijjukirwenga bulijjo, libe lya lubeerera, ng'enjuba. Abantu bonna beeyagalizenga omukisa ng'ogugwe. Amawanga gonna gamuyitenga wa mukisa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Erinnya lye linaabeereranga emirembe gyonna; Erinnya lye linaalwangawo ng'enjuba: N'abantu banaalabanga omukisa mu ye; Amawanga gonna ganaamuyitanga wa Mukisa.