Psalms 73:20 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ng'oli bw'asisimuka n'akisiibula ng'ekirooto, Mukama, ng'ozuukuse, gaya bye beefaanaanyiriza.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bali ng’omuntu azuukuse n’ategeera nti yaloose buloosi; era naawe bw’otyo, Ayi Mukama, bw’oligolokoka olinyooma embeera yaabwe omutali nsa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bayita ng'ekirooto eky'omuntu azuukuse; Ayi Mukama, bw'olizuukuka, olinyooma ekifaananyi kyabwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bayita ng'ekirooto ky'oku makya: ggwe Mukama w'oligolokokera, nga tewakyali gw'olabako.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ng'ekirooto bwe kiri aloose ng'azuukuse; Era bw'otyo naawe, ai Mukama, bw'olizuukuka, olinyooma ekifaananyi kyabwe.