Psalms 73:26 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omubiri gwange n'omutima byandiggwaamu endasi, naye Katonda lwe lwazi lw'omutima gwange, ggwe mugabo gwange emirembe gyonna.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omubiri gwange n’omutima gwange biyinza okulemwa; naye Katonda ge maanyi g’omutima gwange, era ye wange ennaku zonna.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Omubiri gwange n'omutima gwange biyinza okunafuwa: Naye Katonda ge maanyi g'omutima gwange n'omugabo gwange emirembe gyonna.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Nzenna ne bwe mba n'obunafu, mu nze Katonda ge maanyi. Ye ye wange emirembe gyonna.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Omubiri gwange n'omutima gwange bimpwako: Naye Katonda ge maanyi g'omutima gwange n'omugabo gwange emirembe gyonna.