Psalms 73:27 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kyekyo, abakwesamba balizikirira; ozikiriza bonna abatali beesigwa gy'oli.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kale laba, abo bonna abatakussaako mwoyo balizikirira; kubanga bonna abatakwesiga obamalirawo ddala.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga, abakwewala balizikirira, Olizikiriza abatali beesigwa abakulekawo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abakwewala balitokomoka, olizikiriza abatali beesigwa abakulekawo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga, laba, abakuli ewala balizikirira: Wabafaafaaganya bonna abagenda okwenda ne bakuleka.