Psalms 73:7 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Amaaso gaabwe gatunguseeyo olw'amasavu, mu mitima gyabwe mufumbukukamu busiru.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bagezze n’amaaso gaabwe ne gazimbagatana; balina bingi okusinga bye beetaaga.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Amaaso gaabwe gabakanuse olw'obugevvu: Balina ebingi okukira omutima bye guyinza okwagala.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bagezze ne bakanuka amaaso, emitima gibajjudde obugwenyufu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Amaaso gaabwe gabakanuse olw'obugevvu: Balina ebingi okukira omutima bye guyinza okwagala.