Psalms 74:12 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Sso, ayi Katonda, ggwe kabaka wange okuva ddi na ddi; aleeta obulokofu mu nsi wonna.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye ggwe, Ayi Katonda, oli Kabaka wange wa dda; gw’oleeta obulokozi mu nsi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye Katonda ye Kabaka wange okuva edda lyonna, Aleeta obulokozi wakati mu nsi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye obadde Kabaka waffe okuva edda, ayi Katonda. Ggwe Mulokozi waffe bulijjo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye Katonda ye Kabaka wange edda n'edda lyonna, Aleeta obulokozi wakati mu nsi.