Psalms 74:19 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Emyoyo gy'enjiibwa yo togigabulira gasolo; obulamu bw'abanaku bo leka kubwerabira nnaku zonna.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ayi Katonda, towaayo mwoyo gwa jjiba lyo eri ensolo enkambwe; so teweerabiriranga ddala bulamu bw’abantu bo ababonyaabonyezebwa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Nkwegayiridde, towaayo emmeeme y'ejjiba lyo eri ensolo: Teweerabira bulamu obw'abaavu bo ennaku zonna.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abantu bo abateeyinza, tobalekera balabe baabwe bakambwe. Obulamu bw'abanaku bo tobwerabira ennaku zonna.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Nkwegayiridde, towaayo emmeeme y'ejjiba lyo eri ensolo: Teweerabira bulamu obw'abaavu bo ennaku zonna.